Abasomesa basatu e Mubende bakwatiddwa poliisi lwa kusobya ku bayizi bataano ne babafunisa embuto ku ssomero lya gavument erya Kitenga Secondary School.
Abakwatiddwa kuliko Joseph Twinomasiko ne Bright Junior ate omulala ategerekeseko erya John nga bano babadde basomesa ku somero lya Kitenga Secondary School erisangibwa mu gombolola ye Kitenga mu disitulikiti ye Mubende .
Bano okukwatibwa kiddiridde abakulira esomero lino okuteeka wo okukebeera embuto mu bayizi bonna ku ssomero webakizuulidde nti 5 ku bayizi mussomero lino balina embuto era mu kubakunya balumirizza abasomesa okuzibatikka
Amyuka omukulu w’essomero lya Kitenga S.S Paul Mwesigwa avumiridde ekikolwa kino n’ategeeza nga bano bwebajja okuvunaanibwa era babonerezebwe