Abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwaamu balemezzaayo ekibonerezo eky’emyaka 32 egyaweebwa omusajja eyatta mutabani we ow’emyaka ebiri ng’amulanga kumukaabirira.
Abalamuzi bagambye nti buli kimu kiraga nti Charles Sekamatte yatta mutabani we Ronald Kayiwa omulambo gwe n’agusuula mu kasasiro gyegwajjibwa.
Abalamuzi abakulembeddwaamu Remmy Kasule ne Faith Mwondha beebakulembeddemu ensalawo eno.
Wabula omulamuzi Egonda Ntende awakanyizza balamuzi banne ng’agamba nti ekibonerezo kino kisusse obukambwe
Sekamatte omusango yakuzza wakati wa nga 15th ne 16th November 1999 ku kyaalo Marazi Ssisa Entebbe.
Abalamuzi abalemezzaawo ekibonerezo kino bagamba nti ekikolwa ky’omusajja ono kyalaga nti talina mutima era atasaana kuba mu bantu naddala okuliraana omwana yenna kale nga yeetaga kubeera mu kkomera