Bya Moses Kyeyune
Essiga lya gavumeneti erifuga erya Executive bagamba betegese okweyanjula mu kakiiko ka palamenti akamateeka.
Kino kikakasiddwa Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa.
Nankabirwa abadde ayanukula ku kiragiro kyomuubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu Rebecca Kadaga, Minister webyamwulire Frank Tumwebaze okulabikakako eri akakiiko kamateeka olwokujemera ekiragiro kya palaementi nebalyoka basalako essimu za’bantu songa palamenti yabadde eragidde ssalessale eyongezebweyo omwaka wakiri omulala mulamba.
Nankabirwa agambye nti kuno tekwabadde kusalawo kwa Tumwebaze ngo’muntu wabula gavumenti awo weyasibidde, kalenga byonna byebajja okunyonyola.
Kakati Minista Frank Tumwebaze mu kusooka yayise ku mukutu gwe ogwa twitter nategeeza nti ddala essimu zonna ezitali mpandiise zigenda kusalwako era bwekikoleddwa mu kiro ekikeseza olwalaleero.