Bya Joseph Odong
Abantu 6 bakubiddwa byansusso nebasigala batonnya musaayi ku kyalo Aputon mu district ye Soroti nga kigambibwa bakedde nebasanyawo ennyumba azabatuuze obudde bwebubadde busasaana.
Abatuuze bagamba nti bano balabika ba wanyondo okuva e Mbale nga basindikiddwa ettendekero lya Soroti University lyebagugulana nalyo ku ttaka nga bagala okubagobaganya.
Obusisira bwabatuuze 10 okuli namayumba ga bbulooka agawerako byebisanyiziddwawo, ekijje abatuuze mu mbeera nebazindukiriza abasajja bano bebatebererza okubalumba nebabakuma mizibu.
Omowgezi wa poliisi mu bitundu bya East Kyoga, Michael Odongo ategezezza nti batandise okunonyereza wabulanga tebanakakasa kigendererwa kyabantu bano abasanyizaawo amayumba gabantu.
Kati abakubiddwa batwaliddwa mu malwaliro okujanjabibwa.