Skip to content Skip to footer

Ab’ekitongole kye’ntambula yo’mu bbanga betondedde Dr. Besigye

Bya Ruth Anderah

Ekitongole ekivunzyzibwa ku ntambula eyomu bbanga ekya, Civil Aviation Authority kyetonze olwengeri eyobukambwe abakuuma ddembe gyebakwatamu Dr. Kizza Besigye ku kisaawe Entebbe mu mwaka gwa 2016.

Christopher Omondi avuunanyzibwa ku bikwekweto mu kitongole kino mu bujulizi bwawadde mu kooti enkulu, agambye nti bakiriza ddala Dr. Besigye yakwatibwa bubi naye baali tebamanyanga ku byaliwo.

Omondi ategezezza omulamuzi Musa Ssekaana nti kyabaali balowooza nti Dr. Besigye ali mu mikono mituufu.

Kati kooti eyisizza ekibaluwa ekiyita commissona wa poliisi Frank Mwesigwa alabikeko nga 15th Novemba abeeko byabuzibwa.

Okuyita mu banamateeka be aba Rwakafuuzi & Co. Advocates, Dr. Besigye yawalawala aekitongole kyentambula yomu bbanga mu kooti, ngawakanya engeri gyebamukwtaamu okumukwakula ku nnyonyi ya Kenya Airways.

Besigye agamba nti binio byaliwo nga October 3rd bweyali ava mu gwanga lya America, ngatonnya ku kisaawe Entebbe.

Leave a comment

0.0/5