Ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gw’ebyamaguzi kirabudde bannayuganda ku mmere eyiseeko eri ku katale ennaku zino
Akulira ekitongole kino Ben Mayindo agamba bakizudde nti emmere elongoseddwa nepakirwa nga kwotadde n’erimirwa kuno bweyitako ennaku wabula ate netundibwa eri bannayuganda kyagamba nti kyabulabe eri obulamu bw’abantu.
Manyindo era agamba abatunda emmere eno tebamanyi kugikwata bulungi okuva mu nnimiro kale bagenda okugitunda nga yabulabe eri obulamu bw’omuntu.
Agamba abalimi n’abagula emmere eno basaanye okusomesebwa ku nsonga eno okwewala emmere embi n’okwewala endwadde .