
Ab’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic Alliance kyadaaki bafulumizza enteekateka egenda okugobererwa mu kulonda anabakwatira omukgo guno bendera mu kulonda kwamwaka ogugya , nga bino birangirudwa omwogezi w’omukago guno Wafula Oguttu
Okusinziira ku nteekateka zino, bano baakulangirira agenda okubakwatira bendera nga 14 September, era mangu dala bayungule bakakuyege abagenda okumunoonyeza akalulu.
Ono yoomu ategeezeza nti bbo abaagala okwesimbawo mu kamyufu k’omukago guno bakutandika okugyayo empapula z’okwesimbawo okuva nga 25 August okutuusa nga 6 September.