Eyali minisita w’ebyokwerinda mu gavumenti yekisiikirize Kaps Hassan Fungaroo asanyukidde ekya Uganda okugya amagye gaayo mu ggwanga lya Central African Republic.
Mukiseera kino ekibinja ky’abajaasi ekisooka kyakomyewo dda ku butaka kwabo abasoba mu 2000 abali mu ggwanga lino.
Fungaroo nga era mubaka wa palamenti nga atuula ku kakiiko k’ebyokwerinda n’ensonga zomunda w’eggwanga agamba baali baalwawo.
Agamba ensimbi nyingi ezisasanyizibwa ku bajaasi bano ezandibawereddwa okwekulakulanya nga bali kuno.
Amagye ga UPDF gabadde mu ggwanga lino okuviira ddala mu mwaka gwa 2012 .