Bya Musasi waffe
Ab’obuyinza ku ddwaliro lya Kasana Kasana Health Centre IV mu disitulikiti ye Luweero basattira olw’ebbula ly’omusaayi erizingamizza emirimu .
Akulira eddwaliro lino Dr Sinani Mabuya agamba bafuna abalwadde abasukka mu 500 buli lunaku kyokka abazaala betaaga omusaayi wamu n’abo abolongosebwa .
Dr. Mabuya agamba kyetagisa ssente nyingi okugula omusaayi okuva mu malwaliro agaliranyewo sso nga n’amalwaliro amalala mangi e Luweero ne Nakaseke tegalina musaayi.
Abasinga okubeera obubi kati bebalwadde ba Sickle cells abetaaga omusaayi wamu n’abagwa ku bubenje.