Skip to content Skip to footer

Micho Alekulidde Obutendesi

Bya Ivan Ssenabulya

Omutendesi wa tiimu ye gwanga Micho Sredojevic asazizaamu endagaano ye eyemyaka 3 nekitongole ekiddukanya omupiira mu gwanga ekya Federation of Uganda Football Association, ngagamba abadde ayisibwa bubi atenga akolera mu mbeera mbi, kalenga okuva no’lwaleero tagenda kuddamu kubeera mutendesi wa tiimu ya Uganda.

Micho yasooka nassa omukono ku ndagaano ya myaka ebiri mu mwaka gwa 2013 bweyadda mu bigere bya Bobby Williamson, wabula oluvanyuma endagaano ye neziba bugya mu mwaka gwa  2015 nemyaka 3, egibadde gigwako omwaka ogujja.

Munnansi we gwanga lya Serbia ono, yalangirira nga bwagenda okulekulira ssabiiti ewedde oluvanyuma lwomupiira gwokusunsulamu abanetaba mu mpaka za Chan, Uganda bweyali yakamala okumalira ettoomu ku tiimu ye gwanga lya South Sudan.

Bwabadde ayogerera mu lukungaana lwabannamwulire, amakya ga leero, Micho ayodde ku bimu byatuseeko, ngukuyamba Uganda okuyitawo okwetaba mu mpaka za Africa ezakamlirizo oba AFCON ezomwaka 2017, era nagamba alina essuubi nti era Uganda ejja kusbola okwetaba mu mpaka za World Cup.

Ategezezza nti waddenga abadde akola nnyo obutebalira naye abadde tasimibwa.

Obukubagano buno okusinga bubaddenga bwetololera ku nsimbi, nga Micho agamba abanja FUFA omusaala gwe gwa myezi 4 emabega.

Wabula abakulu mu kitogole ekiddukanya pmupiira batezezza nti ono babadde bamusasudde dda ensimbi ze obukadde  230.

Wabula ebiyitingana biraga nti ono yafunye omulimu omusava, ngagenda kutendeka tiimu ya Orlando Pirates mu gwanga lya Misiri.

Leave a comment

0.0/5