Skip to content Skip to footer

Omubulizi We’njiri Asulise Omugoberezi Ennenge

MBARARA

Ekifananyi Kijiddwa mu Tterekero.

Poliisi ye Mbarara eriko omusajja owemyaka 37 gwegalidde nga kigambibwa yakidde mussajja munne namusiyaga.

Okusinziira ku poliisi, omukwate mubulizi wa njiri okuva mu kanisa ya Kiryaburo Church of Uganda, nga mutuuze mu ggombolola ye Rugaaga mu district ye Isingiro.

Kigambibwa ono yakidde Moses Ndyamuhaki eyabadde aleese omwana we mu ddwaliro okujanjabibwa namukwenyakwenya namusulika ennenge ku mpaka.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Rwizi, Samson Kasasira ategezezza nti ono bamukwatidde mu ka loogi akamu, akamanyiddwa nga Jemax lodge, ngali bukunya.

Kigambibwa ono yakubidde Samson essimu namukwenyakwenya ajje amusabireko wabla olwatuuse namwefulira.

Okusinziira ku poliisi, ono aludde nga yefunyiridde ku musajja munne okumusaba omukwano.

Wabula yye omuvunanwa byonna, ebimwogerwako abyegaanye nategeeza nti yye yakasisinkano omusajja ono omulundi gumu bweyali aleese abaana be okubasabira

Leave a comment

0.0/5