Butambala
Bya Sadat Mbogo
Abantu batano (5) bebakakasidwa nti bafiridde mu kabenje nabala 9 banyiga biwundu nga bonna bawagizi bamupiira gamasaza.
Akabenje kano kaagudde mu kibira kye Seenene okulina ne town ye Kibibi ku luguudo lwe Mpigi-Gomba.
Okusinziira ku police bano babadde batambulira mu Taxi number UAZ 212D nga yabadde ekubyeko abawagizi be Ssaza lye Bulemeezi nga babadde bolekera ku kisawe kye Kabulasoke okuwagira tiimu yabwe mu mupiira ogwokudingana mu zakamalirizo eziddirira ezisembayo ne tiimu ya Gomba.
Police etegezezza ng’emotooka mwebabadde batambulira bweyalemeredde omugoba wayo bwetyo neyefuula nga nolugundo lwabadde luserera oluvanyuma lwekire kyenkuba, eyattonyye akawungeezi akayise.
Omu ku berabiddeko ng’akabenje kano kagwawo ategezezza nti omugoba we mmotooka nabawagizi bonna babadde batamidde kubanga emmotooka yasangidwamu eccupa zo’mwenge nobuvera bwa waragi.
Ayogerera polisi mu bitundi bya Katonga Phillip Mukasa, akakasiza akabenje kano nakateeka ku kuvugisa ekimama ne ndiima.
Omugoba we mmotoka kigambibwa yabadde mupya ku luguudo luno.
Abagenzi kuliko omugoba wemotooka eno David Sserubbo, Zamu Nalubega, Kenneth, Sarah nomuyizi eyaadde ava mu districy ye Luwero.
Ate abalumizidwa kuliko Christine Nakidde, Hasifah Nattabi, Eric Ntuluma, Gayita Ssenjovu, Agnes Nakibuule, Bashir Mudde, Prossy Nambooze, nabalala.
Dr. Samuel Ssekamatte, akulira eddwaliro lye Gombe abasing ku bakoseddwa gyebaddusiddwa ategezezza nti abamu ku bano basindikiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago okwongera okufuna obujanjabi.
Ebipapajjo bye mmotoka byasikiddwa nebiretebwa ku poliisi e Kibibi ngokunonyererza bwekugenda mu maaso.
Wabula mungeri yeemu lyo, essaza lya Bulemeezi lyawanduddwa okuva mu mpaka za’masaza, Gomba bweyabakubye 2-1 omugatte.