Skip to content Skip to footer

Ebisanja ssi ye demokulasiya- Museveni

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akkatirizza nga Uganda bwetetaaga kkomo ku bisanja enkola ya demokulasiya okubukala mu ggwanga.

 

Nga ayogerako nebannamawulire mu maka g’obukulembeze bw’eggwanga e Gulu, pulezidenti Museveni agambye demokulasiya  asoboka nga bannayuganda balonda abakulembeze bebaagala.

 

Agamba abamuvuganya abagenda boogera ku kuzzayo ekkomo ku bisanja baleme kulimbalimba bantu bafuneyo ebirala eby’okwogerako..

 

Dr Kiiza Besigye ne Amama Mbabazi bonna basuubizza okuzzawo ekkomo ku bisanja.

Leave a comment

0.0/5