Ssabasajja Kabaka wa Buganda y’omu ku bagenda okwaniriza Paapa Francis nga yakatonya ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe ku lunaku olwokutaano.
Kino kibikuddwa Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu lukiiko olukomekereza omwaka wali e Bulange Mengo
Mungeri yeemu Katikiro Mayiga ategezezza nga Buganda bw’egenda okubeera nampa wengwa mu kampeyini zino ezikyagenda mu maaso.
Mayiga ategezezza nga bwebatagenda kuwanda ku Muntu yenna ddusu.
Katikiro era yeganye ebigambibwa nti obwakabaka bwa Buganda bwasisinkanyemu abamu ku besimbyewo ku bwa pulezidenti .