KKooti etaputa Ssemateeka esazeewo nti ababaka ba palamenti tebalina buyinza kweyongeza musaala
Abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu amyuka ssabalamuzi w’eggwanga Stephen Kavuma basazewo nti gavumenti y’erina okuleeta ekiteeso ky’okwongeza ababaka bano omusaala sso ssi bbo kweyongeza buli webagalidde.
Abalamuzi bano era balagidde gavumenti esasule Wilson Mwesigye eyawaaba omusango guno mu 2011 oluvanyuma lw’ababaka okweyongeza omusaala.
Twogeddeko ne munnamateeka we Fred Mukasa Lugalambi n’ategeeza nga kino kiyambye okukoma ku babaka okweyongeza omusaala buli webaagalidde