
Agava e Karamoja waliwo okutya olw’omuwendo gw’abakyala abazaalira okumu kumu okweyongera.
Kino nno kivudde ku mmere egabwa ku bwereere eri abakyala b’embuto nga bangi gyebaba babaza
Okusinziira ku b’ebyobulamu, kino kyabulabe kuba amaka agasinga maavu ebitagambika nga gyebujja tebajja kusobola kubezaawo baana bano abazaalibwa.
Omusawo ku ddwaliro lya Nakapelimoru Health Centre 3 omusawo Joyce Look Ajok agambye kati kyebaliko kwekusomesa akabi akali mu kino eri abakyala mu Karamojja.