Bya Shamim Nateebwa ne Magembe Ssabiiti
Minister avunanyizibwa ku ntambula za Ssabasajja Kabaka Owek. Mariam Mayanja akakasizza nga Ssabasajja bwagenda okutuuka mu Ssaza lye elye Buweekula ku Sanday, mu gandaalo lya ssabiiti eno wakati we saawa 6-7 ezemisana.
Omutanda wakwanirizibwa ku mugga Nabakazi ku nsalo ye ssaza lye Singo ne Buweekula.
SSabasajja wakulambula omuti gwa Nakayima nga bwanyonyodde entekateeka eno.
Eno Ssabasajja Kabaka yasiima, gyabakuliza amattikira ge agomulundi ogwa 24.
Mungeri yeemu olwaleero abayisiraamu bonna mu gwanga basabidde omutanda ngebimu ku bikulembeddemu amatikkira.
Ku muzikiti e Kibuli okusaba kukulembedwamu Supreme Mufti, Sheik Siliman Ndiragwa asabye omutonzi okwongera okukuma omutanda asigale ku Namulondo.
Yye loodi meya wa Kampala Erias Lukwago asabye ebintu byonna ebikyasigalidde, bigonjolwe omutanda asigaale ku Namulondo nobwakabaka okudda ku ntikko.
Mu kusaba kuno Katikkiro wa Buganda atisse obubaka, minister omubeezi owebyobuwanga Hajji Hamis Kakomo nasaba Obuganda okukozesa ettaka obulungi wakati mu kusomozebwa okuliwo.
Agambye nti etaaka, kyekimu kubyobugagga nensibuko ya Buganda nga balina okulikozesa obulungi.
Amatiikra gakubaawo nga 31 e Buwekuula nomulanga Okukuma Nokukozessa Ettaka okukuza Buganda.
Minister omubeezi owa gavumenti eze bitundu bwakabaka bwa Buganda Owek. Joseph Kawuki ategezezza nga omulamwa bwegutereddwa ku ttaka nga wano alaze obwenyamivu olwenkayana ze ttaka ezisusse mu Ssaza lye Buweekula.
