Bya Juliet Nalwooga
Minisita omubeezi owebyamawulire, techonologiya nokulungamya egwanga Peter Ogwang, asabye bann-Uganda okweyambisa technologiya okuwuliziganya nabagalwa baabwe, mu mu nnaku zino enkulu okwewala ssenyiga omukambwe Covid-19.
Bino abitadde mu bubaka bwe obwa ssekukulu, ngagambye nti waddenga wabaddewo enkola eyabulijjo okusisinkana abagalwa, okuliirako awamu, kuluno betaaga bakyewale, kubanga kyakuteeka obulamu bwabwe kabi okulwala.
Ogwang agambye nti kisobokera ddala, okuwuliziganya nokusanyukira awamu ku mitimbagano, awatali kukungaana mu bungi.
