Bya Ritah Kemigisa
Poliisi etegezezza nti wabaddewo okukendeera kwobumenyi bwamateeka omwaka guno.
Mu bubaka bwa ssekukulu, obuvudde ewa ssabapoliisi we gwanga Martin Okoth Ochola agambye nti era basubira webanafundikririra omwaka ngobumenyi bwamateeka bukendedde nebitundu 5.4%.
Kino akitadde ku maanyi agatereddwamu, awamu ngabakuuma ddembe.
Agambye nti obumenyi bwamateeka obwetobekamu emmundu bwakendedde, nga kivudde ku ntekateeka yebinkumu eri abakozesa emmundu gyebaleeta.
Ebiralala agambye nti obwa kkondo okuli okunyaga aba mobile money, okuwamba abantu nebiralala byakendedde mu mwaka guno.
Wabula agambye nti ebikolwa ebyabantu babulijjo okulumba abakuuma ddembe, bbyo byeyongede nnyo.
Bino abivumirirdde era nasaba abantuokukuuma emirembe, okusobola okuyita obulungi mu nnaku enkulu.
