MUBENDE
Bya Magembe Sabiiti
Poliisi ekakanya obujagalalo eyiriddwa mu gombolola ye Madudu mu disitulikiti ye Mubende okukakanya embeera, oluvanyuma lwabatuuze ku byalo 5 abatwalibwako ebibanja
byabwe ne bisimbibwako emiti okuva mu mbeera nebakakana ku manager wa kampuni yaba China esimba emiti mu kitundu, eya Quality-Parts nga ye Tumwine Stephen nebamutematema ne bamutta.
Poliisi ngekulembedwamu omuddumizi waayo, Byaluhanga Patrick nomubaka wa gavumenti Florence Beyunga batuuse ku kyalo Nakasozi webatidde manager ono mu bukuumu obutagambika wakati mu kunonyereza.
Kati twogeddeko ne Kansala akikirira omuluka gwe Kabulamuliro ku gombolola ye Madudu, Katulamu Moses ngategezeezza nga obutakanya ku ttaka lino bwebwatandika
mu mwaka gwa 2011 nga nokutuusa kati ensonga gavumenti ebadde tefudeeyo okuzigonjoola.