Bya Abubaker Kirunda
Waliwo abaana abalongo abafiridde mu muliro, ogukutte ennyumba mu munispaali ye Njeru e Buikwe.
Entiisa eno abadde ku U.E.B mu Kabuga ke Njeru.
Daniel Magumba eyerabiddeko nga mulirwana abazadde babaana bano tebabaddeewo, omuiro wegukwatidde.
Abaana bano babadde ba myaka 5, ngoluvanyuma poliisi ejjeewo emirambo nejitwalaiba mu gwanika lye ddwaliro e Jinja ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.