Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 asiimye omulimu ogukoleddwa abakulembeze mu ssaza lye erye Buluuli okujja abantu mu bwavu.
Omutanda era atendereza enkolagana ennungi wakati w’abakulembeze b’essaza n’abakulembeze aba gavumenti ey’awakati mu kuwereza abantu.
Ssabasajja Kabaka asoose kulambula essaza lye Buluuli.
Ssabasajja atuuseeko mu gombolola ye Kalungi n’aggalawo olusiisira lw’ebyobulamu era ng’agabye n’endokwa z’emwanyi mu kawefube w’okujja abantu mu bwavu.
Wadde nga namutikkwa w’enkuba afudembye, tekirobedde bantu kukungaana okulinda Ssabasajja.
Emyaka gibadde musanvu be ddu nga ssabasajja tagenda buluuli oluvanyuma lwa ssabaluuli okukwata wansi ne waggulu.