Skip to content Skip to footer

UJCC erangirirdde okusabira egwanga kwannaku 3

Bya Prosy Kisakye

Uganda Joint Christian Council ekibiina ekitaba enzikiriza zabakulisitaayo, balangirirdde okusaba nokusiiba kwa nnaku 3 mu gwanga lyonna, ngokulonda kwa bonna nga 14 January bakuteeka mu mikono gya Katonda.

Kino kiranagirirddwa Ssabasumba we ssaza ekkulu erye Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga, ngasinzidde mu kusaba okubadde ku lutikko e Rubaga.

Okusba kugenda kutandika ku Bbalaza nga 4 okutukira ddala nga 6 January.

Ategezezza nti abakatulikiti bebagenda okukulemberamu okusaba kuno ku kiggwa kyabajulizi e Munyonyo ku Bbalaza, kukulemerwemu aba-Othodox ku Lowkubiri e Namungona ate Church of Uganda bebajja okuggalawo nga 6 January ku lutikko e Namirembe.

Dr. Lwanga era alangirirdde okusaba okwa Novena nokwegayirirra okumala ennaku 9 mu kkerezia, nga bakukugendamu nga bakalama okusaba okwawamu okwa UJCC.

Leave a comment

0.0/5