Bya Ritah Kemigisa
Ekitongole kyekibiina kyamawanga amagatte, ekirabirirra abaana, United Nations Children’s Fund kitegezezza nti basubira abaana 3,636 okuzalibwa mu Uganda olwaleero ku lunnaku olusooka mu mwaka.
Kino kitegeeza nti wabaddewo okudirirra, mu miwendo gyabaana abazalibwa ne 7.3% bwogerageranya nabaana 3,900 abazalibwa ku lusooka mu 2020.
Kati omugatte abaana abazalibwa mu nsi yonna, ekitundu ku bbo abasing bava mu mawanga 10.
Abaana abasing emitwalo 5 mu 9,000 bazalibwa mu India, emitwalo 3 mu 5,000 mu China nabaana 8,000 mu gwanga lya Congo nabalala.
Uganda egenda kugattako 0.9% ku baana abazalibwa mu nsi yonna ku lunnaku luno olusooka.
Akolanga omubaka wa UNICEF owekiseera mu Uganda Laura Fouché, agambye nti kyekiseera okulongoosa okusomozebwa okubaddewo eri abaana mu 2020basobole okubeera nobulamu obulungi mu 2021.
Alanagirirdde nti 2021 gugenda kubeera mwaka gwabaana.