Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni akakasizza nti abakuuma ddembe, ddala bebatta omukubi webikonde Zebra Ssenyange.
Bino bijidde mu bubaka bwe, obumalako omwaka bwabadde ayogerako eri egwanga akawungeezi ke ggulo.
Museveni yetonze, era nagamba nti omugenzi Ssenyange yali abkolera omulimu gwa ttendo okukunga obuwagizi eri ekibiina kya NRM mu bitundu bye Kawempe.
Wabula agambye nti yafunye amauwlire kungeri abantu be babadde atendeka, engeri gyebabadde bagezaako okukola akavuyo.
Kati asubizza okunonyereza okuzuula ebisingawo ku nfa ya Ssenyange, wabuila nakineneya ku boludda oluvuganya gavumenti bagamba nti batisatiisa abantu.
Ssenyange eyali amanyiddwa nga Mando yakubibwa amasasai agamutta mu kiro kyanga 30 Decemba kinnya nampindi, okuva ku maka ge.
Mungeri yeemu Museveni asabye banna-uagnda bewale ebikolwa ebye ffujjo mu kulonda okubindabinda.
Museveni nga yakutte bendera ya NRM ku bukulembeze bwe gwanga, akaksizza nti tewali mbeera ya ffujjo gyebagenda kukiriza.