File Photo: Olukiiko lwa Buganda
Olukiiko lwa Buganda luzzeemu okutuula olunaku olwaleero okukubaganya ebirowoozo ku mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2015/2016.
Wiiki 2 emabega embalirira ya buwumbi 8 yeeyasomebwa minisita w’ebyensimbi eva Nagawa, era ng’ensimbi ezisinga obungi zakuva mu Buganda land board, Nkuluze, emisolo ku masomero wamu n’amakubbo amalala.
Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Nelson Kawalya agambye nti abakiise bakukubaganya…