
Ekibiina kya National Resistance Movement kimalirizza enteekateeka z’okusengeka enkalala zaakyo ez’abalonzi abagenda okukuba akalulu mu kamyufu.
Wiiki ewedde akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kino kafulumya ebigenda okugobererwa mu kamyufu okuva nga July 14th – 31st.
Amyuka ssentebe w’akakiiko kano John Kijaji agamba okwanjala enkalala z’abalonzi kwakutandika ku lwokusatu ku byalo eby’enjawulo bannakibiina okusobola okwekebera ku nkalala zino.
Abakiise b’abagenda okwesimbawo baakuweebwa omukisa okukebera enkalala zino okulabamu ensobi zonna nga okulonda tekunatandika.