Ba dereeva ba taxi wansi w’ekibiina kya Uganda Drivers Cyclist and Allied workers balangiridde nga bwebagenda okussa wansi ebikola ku lunaku lwa bbalaza lwa poliisi gyebagamba nti esusse okubatulugunya
Ssentebe w’omukago gw’abakozi omuli ba dereeva bano Wilson Owere agamba nti okwekalakaasa kuno ba dereeva mwebagenda okuyita obutakwata ku motoka yonna okulaga obutali bumativu
Ba dereeva baludde nga bemulugunya ku ba poliisi okubatulugunya era ng’ensonga zino bazitwalirako poliisi gyebuvuddeko
Wabula yye omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti talina ky’amanyi ku keediimo kano.
Kyokka yye akulira ba dereeva ba taxi Mustapha Mayambala agambye nti tamanyi ku keediimo akogerwaako ku bbalaza.