Skip to content Skip to footer

Bannayuganda 2 batiddwa mu South- Sudan

 

Fighting resumesKikakasiddwa nga bannayuganda 2 bwebafiiridde mu kulwanagana okugenda mu maaso mu ggwanga lya South Sudan.

Abagenzi bategerekese nga  Dr kyandiga Ben omutabuzi w’eddagala ne  Batere ceaser abadde avuga emmotoka z’ekibiina ky’amawanga amagatte .

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga embeera ekyali ya bwerinde nga kati teli munnayuganda wakukirizibwa kusala kuyingira South Sudan okutuusa nga embeera ezze mu nteeko.

Enanga anyonyodde nti mukiseera kino poliisi mu bitundu bya Aswa eragiddwa okulawuna ensalo yonna n’eggwanga lya South Sudan okulaba nga tewali munnayuganda asalinkiriza kwesogga South Sudan.

Wabula agamba embeera ku ludda ya Uganda yabukkakamu yadde nga bangi basala okuva e Sudan okwesogga Uganda.

omwogezi wa UPDF Lt. Col Paddy Ankunda  agamba tebalina kirowoozo ekyo okugyako okukuuma ensalo za Uganda.

 

Leave a comment

0.0/5