Skip to content Skip to footer

Abakyala batabuse

Ingrid attacked

Nga eggwanga lyetegekera okukuza olunaku lw’abakyala, abakyaala okuva mu kibiina kya FDC banenyezza gavumenti olw’okulemererwa okukola ku bizibu ebibaluma.

Nga bakulembeddwamu abakulira  Ingrid Turinawe, abakyala bano bagamba banji ku banaabwe obwavu bubesibyeko nga olukokobe sso nga abakyaala 19 bebafiira mu ssanya buli lunaku.

Bano era banenyezza gavumenti okulemererwa okubazimbirawo eddwaliro eryenjawulo erikola ku ndwadde ezisinga okubabonyabonya.

Bano kati baagala abakyaala bazire emikolo emukulu egigenda okubeera mu disitulikiti ye Kabale nga era bbo baakutegeka egyaabwe nga 11 omwezi guno nga era baakwogera ku nsonga zaabwe ezibaluma.

Bano era baakutonera eddwaliro ly’e Bugiri ebikozesebwa .

Leave a comment

0.0/5