Skip to content Skip to footer

Okweyimirirwa kwa Besigye kusalibwawo nkya

 

Besigye arrives at courtKkooti enkulu yakusalawo olunaku lwenkya ku kusaba kwa DR Kiiza Besigye okweyimirirwa.

Omulamuzi wa kkooti enkulu Wilson Masalu Musene amakya galeero lwawulirizza okusaba kuno n’asalawo ensalaye agiwe olunaku lwenkya.

Besigye nga ayita mu munnamateekawe Earnest Kalibbala ayanjizza ensonga ezenjawulo lwaki ayagala omuntun we ayimbulwe n’ategeeza nga Besigye bwakuliridde ku myaka 62, ssemateeka amukkiriza okweyimirirwa sso nga alina n’amaka agenkalakalira e Kasangati kale nga ssiwakwebulankanaya mu kkooti.

Puliida Kalibbala era anyonyodde nti Besigye abadde ku alimnada kumpi myezi 2 awatali kusalawo ku musango ogumuvunanibwa kale nga asanye okuyimbulwa.

Besigye aleese abamweyimirita 4 okuli ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Gen. Mugisha Muntu, ssabawandiisi wa FDC General Nathan Nandala Mafabi,  omubaka wa municipaali ye Rukungiri  Roland Mugume ne meeya w’egombolola ye Rubaga Joyce  Nabbosa Ssebugwawo.

Wabula bannamateeka wa gavumenti Brian Kalinaki ne  Florence Akello bawakanyizza ekya Besigye kweyimirirwa.

Bano bagamba Besigye okuyimbulwa kati kyakukyankalanya okunonyereza ku musango gw’okulya mu nsi ye olukwe sso nga taleeteranga kkooti bbaluwa ya buzaale eraga nti ddala akuliridde mu myaka.

Bagambye nti Besigye oluyimbulwa wakuddamu okujeemera amateeka mu nkola ye eya Defiancy campaign kubanga azze akinoganya lunwe nti wakujeema kale nga asaana kujira nga abeerayo e Luzira.

 

Omulamuzi Wilson Masaalu Musene kati asalawo lunaku lwankya.

Leave a comment

0.0/5