Bya Ivan Ssenabulya
Omusumba wa St. Dunstan e Wantoni e Mukono Rev. Amos Namwanja avumiridde abazadde abaleeta abaana okubatizibwa mu kanisa ate oluvanyuma nebabawonga mu masitaani.
Omusumba Namwanja asinzidde mu kuabatizza abaana abaweredde ddala 80 ku kanisa ya St.Dunstan e Wantoni.
Asabye abazadde okufaayo eri abaana okubakuliza mu ddiini.