Skip to content Skip to footer

Ku ddwaliro e Nakawa abasawo batono

 

kamyaAbasawo mu ddwaliro lye Naguru bemlugunyizza eri minisita wa Kampala Betty Kamya ku bbula ly’ebisenge webateeka abalwadde abayitiidde abeyiwa eno oluvanyuma lw’okuggala ebimu ku bitundu by’eddwaliro ekkulu e Mulago.
Minisita Kamya , meeya we Nakawa Ronald Balimweso wamu nebakansalabe balambudde eddwaliro lino okulaba embeera gyelirimu n’engero y’okubayambamu.

 

kati akulira eddwaliro lino ategezezza nga bwebafunaabalwadde abasoba mu 1000 buli lunaku nga tebasobola kubakolako bonna nga abamu bebaka wansi nga n’obusenge bwajula dda nga mulimu abalwadde abasukka mu 15.
Serwaja era yemulugunyizza ku muwendo gw’abasawo abatono naddala abazalisa nga omuzalisa omu akola ku bakyala 15 kale nga gavumenti esaanye okubaddukirira.

 

Ye minisita Kamya asabye ab’eddwaliro lino okuvaayo ne alipoota ku bizibu ebibali obukiika okulaba wa gavumenti wenasobola okubakwatizaako.

 

Mukiseera kino mukyala Kamya ali mu nsisisnkano ne ba kansala okuva mu gombolala ye Nakawa ku kitebe ky’e gombolola.

 

Leave a comment

0.0/5