Skip to content Skip to footer

Abagambibwa okutta Kirumira babongeddeyo

Bya Ruth Anderah

Abantu 2 abavuananibwa okwetaba mu kutemula omusirikale wa poliisi Muhammad Kirumira, basindikiddwa mu kooti enkulu, gyebanawoereza.

Abubakar Kalungi ne Hamza Mwebe balabiseeko mu maaso gomulamuzi we ddaala erisooka e Wakiso Noah Ssajjabbi, nabasindika mu kooti eya waggulu.

Omuwaabi wa gavumenti mu musango guno Amelia Kamusha, ategezezza ng’okunonyereza kwa poliisi bwekwagwa nga bamalirizza nempapaula zonna ezetagisa.

Bano bavunanibwa okutta Muhammad Kirumira ne Resty Nalinya Mbabazi, obutemu obwaliwo nga September 8th 2018 e Bulenga mu district ye Wakiso.

Leave a comment

0.0/5