Bya Ritah Kemigisa
Wofiisi yomuwabi wa gavumenti ategeezeza ngensimbi akawumbi 1 bwezakazuulwa okuva mu mikono gy’abalabbi okuva mu November 2017 okutuusa olwaleero, nga bino byebimu ku bibala ebivudde mu kawefube ow’okumalawo enguzi mu gwanga.
Bino byogeddwa omuwaabi wa gavumenti omukulu Mike Chibita bwabadde yetabye ku mukolo ogw’okutongoza sabiiti enamba ey’okulwanyisa enguzi omukolo ogubadde ku City Square, Chibita ngono agambye nti zino zigiddwa mu bakozi ba gavumenti ababdde bazibulankanya.
Ono mungeri yeemu agambye nti emisango gyebakawangula mu myezi 4 egyakayita girinye okuva ku bitundu 67% okutuuka ku bitundu 87.5% bw’otunulira emisango gyebatwala mu kooti.
Ono agambye nti okwongera okumalawo emisango gino egyetuumye baagala kuleeta enkola enayitwamu abakwatiddwa ku misango gyenguzi mwebayinza okwenenyeza nebazza ensimbi zino nga tebamaze na kutwalibwa mu kooti.
Ssabiiti yomwaka guno etambulidde ku mulamwa gwakulaba nga abatuuze betaba mu kulwanyisa enguzi.