Skip to content Skip to footer

Abakyala balina okwenyigira mu bukulembeze

Bya Ivan Ssenabulya

Abakyala mu gwanga basabiddwa okwenyigira mu byobukulembeze.

Omulanga gukubiddwa Sarah Eperu, omu ku bakulu mu kiwayi kyabakyala mu kibiina kya FDC, ngategezezza nti abakyala bebasinga okukosebwa olwobukulembeze obubi.

Kati alaze obwetaavu bwabkyala okwenyigira mu bukulembeze, anokoddeyo ebbula lyamazzi amayonjo, ebbula lyemirmu, entalo mu gwanga nebiralala nti okusinga bibakosa ngabakyala, kalenga betaaga okwetaba mu bukulembeze besalirengawo.

Ate mungeri yeemu Uganda Media Women Association ekibiina ekitaba abakzi abali mu mawulire bavumiridde, ebikolwa byokukabasanya abakyala abali mu mirmu gino.

Akulira ekitongole kino Magret Ssentamu, agambye nti buli mukazi alai mu mawulire yali atyoboddwako mu mbeera eno, okuli okubatigatiga, nebiralala ebitayogerekeka.

Bino ategezeza nga bwebikolebwa bakama baabwe, bebakola nabo ate nabantu babulijjo gyebatera okukolera.

Omulanga wegujidde nga kawefube aganeda mu maaso owe nakku 16 okulwanyisa obutabanguko nebikolwa ebinyigiriza abakyala.

Leave a comment

0.0/5