Enteekateeka y’ekitongole ekikola ku butonde bwensi okuwera okukozesa akaveera erabika nga egudde butaka, oluvanyuma lwa gavumenti okulangirira nti buli kimu kiyimirizibwe.
Bino okutuuka wano, kiddiridde bannabyabusuubuzi okusisinkanamu ssabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda nebakkaanya nti kino sikyakumala gateekebwa mu nkola nga tebemaze kwetegeke
Akulira ekibiina ekitaba bannamakolero ekya Uganda Manufacturers’ Association Ssebaggala Kigozi atutegeezezza nti buli kimu kiyimiriziddwa okubasobozesa okwetereeza kubanga kino kibadde kyakubaletera asala wa maanyi.