Gabadde maziga mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Rosemary Nankabirwa ng’ono yali musomi wa mawulire ku NTV.
Omusawo eyasooka okulongoosa Nankabirwa ategeezezza abakungubazi nga bwebaakola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bwe kyokka nga kyaali kikereezi
Ono agambye nti Nankabirwa bagenda okumutuusa e Mulago nga kokoolo we akuze era ng’agambye nti lweyasooka okutunula ku mugenzi yalabirawo nti baali basiba bikutuka kyokka nebataggwaamu maanyi era nebamulongoosa
Dr Paula byonna ebitadde ku basawo mu Bungereza abataasoka kulaba nti Nankabirwa alina kokoolo bbo nebadda mu kumujjanjaba omugongo ekintu ekyasajjula embeera
Dokita ono amalirizza na kulabula bakyala abakozesa ebizigo ebyeyerusa nti byebimu ku bireeta kokoolo asse Nankabirwa yadde yye yali teyeyerusa kyokka era n’asangula ebigambibwa nti eddwaliro lye Mulago erikola ku ba kokoolo teririna busobozi
Yye atwala ensonga z’abakozi ku NTV Solomon Muhiirwa atangaazizza ku byogerwa abantu nti balwaawo okuyamba Nankabirwa n’ategeeza nti ono yali yakoma okubeera omukozi waabwe kale nga baali tebamanyi bimufaako okutuuka lwebyafulumira mu mawulire
Yye Maama w’omugenzi agambye nti ky’ayize mu bbanga ly’amaze ng’ajjanjaba muwala we kiri kimu nti kokoolo aluma.
Yeebazizza abantu olw’omukwano gwebabalaze n’obuwagizi
Nankabirwa yafa ku lunaku lwa ssande olunaku lumu lwokka ng’amaze okujjibwa e Mulago okutwalibwa e Kenya okujjanjaba kokoolo abadde amubala embiriizi
Wakuziikibwa olunaku lw’enkya e Kanoni Kyannamukaaka mu distulikiti ye Masaka ku ssaawa munaana