Abantu 2 okuli n’omuyizi wa yunivasite ye Kumi abadde asoma mu mwaka gwe ogwokubiri bagudde mu Nyanja ya Bisina ne bafa oluvanyuma lw’akaato kwebabadde basaabalirira okwebika mu mazzi.
Omuyizi mutuuze ku kyalo Kokong mu disitulikiti ye Ngora nga era y’abadde azzeeko waabwe ku wikendi.
Balubbira ku kyalo bamaze kumpi essaawa 24 nga banonya emirambo okutuuse lwebajizudde nga giwagamidde mu kiddo.
Atwala poliisi ye Kair Peter Wanok abagenzi abamenye nga Michael Omuge 23 ne Michael Wandera.20
Akabenje kano kaaguddewo ku ssaawa 11 ez’olweggulo ku sande nga bbo abalala 2 baasobodde okuwuga nebawona.
Ab’obuyinza mu kitundu kino bagamba abantu 5 bebakabbira mu kifo kyekimu bukyanga mwaka guno gutandika.