Bya Benjamin Jumbe,
Akakiiko ke byokulonda kakutandika okugaba obupapula obulaga omuntu walina okulondera
Obupapula buno bwakutandika okugabwa ngennaku zomwezi 3rd Jan 2021 okwetoloola eggwanga
Kino kigendererdwamu balonzi okwanguyirwa okumanya wa we balina okulaga nga okulonda kutuuse basobol okusuula akalulu ka kaabwe
Akapapula kano kaliko erinnya lyomulonzi, ennaku kweyazaalibwa, ne gyabeera ne linnya lye kifo gyalina okulondera
Okusinzira ku sentebe wa kakiiko ke byokulonda Simon Byabakama, akapapula kano sikakusasulira, omulonzi wakukafuna ku bwerere era kakugabwa ku miruka
Kati asabye abantu bonna abewandiisa okulonda okugenda ku bitebe bye miruka bafune obupapula buno