Bya Prossy Kisakye,
Abawagizi bakwatidde ekibiina kya National Unity Platform bendera mu kuvuganya kubwa pulezidenti Robert Kyagulanyi, abakwatibwa e Kalangala nakati bakyali mu nkomyo oluvanyuma lwokumibwa omukisa okwofuna bannamateeka
Ku lwokusatu lwa ssabiiti eno abantu 90 bebagombwamu obwala bwebakungana okuwuliriza Kyagulanyi eyali agenze e Kalangala okuwenja akalulu
Era omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga yakakasa okukwatibwa kwábantu bano era nagamba nti bakugulwako emisano omuli okukuma omuliro mu bantu, okuziba amakubo, nokukola ekikolwa eyinza okusasanya ekirwadde kya covid
Wabula okusinzira ku mwogezi wa NUP, Joel Ssenyonyi, abakwate bonna bakyali mu buguli bwa poliisi e Masaka ne Kalangala kuba tebakkirizibwa kulaba bannamateeka baabwe songa na bamu tebamanyi gye bali.
Naye agamba nti bannamateeka baabwe tebatudde bakola ekisoboka okulaba nti bayimbulwa
