Bya Ritah Kemigisa ne Benjamin Jumbe
Munna DP Deo Njoki avuganya kubwa ssentebbe bwa district ye Busia, avuddeyo nawakanya ebibadde biyitingana, nti yavudde mu lwokaano.
Bwabadde ayogeerra mu lukungaana lwabanamwulire olutudde ku kitebbe kyekibiina mu Kampala, Njoki akakasizza nti yabadde alondeddwa, ku kakiiko ake ddembe lyobuntu aka Uganda Human Rights Comisson naye omulimu nagugoba.
Wano ssenkaggale wa DP Norbert Mao, agambye nti ekibaluwa ekibadde kiyitingana ku mitimbagano gya internet, kyasomoddwa, kubanga babadde ensonga eno bakyagikwasaganya ngabakulembezde munda mu kibiina.
Agambye nti era kibawadde ekyokuyiga kuba buno bukodyo bwa gavumenti, okwagala okunafuya abajivuganya.
Mu kusooka nakakiiko kebyokulonda kabaddi kategezezza nti tekanafuna mu buwandike, okuva kwowa DP e Busia mu lwokaano.
Bwabadde ayogerako naffe, akulira ebyokulonda e Umar Kiyimba atubulidde nti tebanafuna kuvaamu kwe mu buwandiike.
Eno okulonda kubindabinda okubaawo nga 28th omwezi guno.