Bya Juliet Nalwoga ne Ritah Kemigisa
Ab’ekibiina kya National Unity Platform bategezezza nti tebamatidde nolukalala, lwabanatu ababuzibwawo abebyokwerinda olwalagidwa palamenti olunnaku lwe ggulo.
Bano bagamba nti bakyalina bibuuzo bingi ku nsonga eno.
Olunnaku lwe ggulo minisita owensonga zomunda mu gwanga Jejje Odongo daaki yalaze olupapula oluliko abantu 177 nebibakwatako, okuli emisango egyabakwsa na wa webali.
Wabula omwogezi wekibiina kya NUP Joel Ssenyonyi agambye nti olukalala lwa Odongo luliko abantu batono, naddala abo abakwatibwa mu masekati ga Kampala songa abalala bangi abazze babuzibwawo mu disitulikiti ezesudde.
Ssenyonyi agambye nti abawagiiz baabwe bangi abazze bakwatibwa, naye nawera nti baakuyita mu mateeka okuwakanya ebikolwa bino.
Ono agamba nti abantu 243 bbatamanyikiwako mayitire, ngabasinga bawagizi ba NUP.
Wabula nababaka abasinga bawakanyizza olukalala luno.
Ate ssentebbe owomukago gwabalondoozi bebyokulonda ogwa Citizens Coalition for Electoral Democracy in Uganda, eyali minisita omukwasisa wempisa nobuntu bulamu Miria Matembe asabye nti waberewo obwenkanya eri abantu abazze bakwatibwa.
Mungeri yeemu Matembe agambye nti busaanye bubeere buvunayizbwa bwa buli munna-Uganda okulwanyisa ebikolwa bino nokulaba nti abantu bebazze bakwata nokubabuzaawo mungeri emenya amateeka nti bafuna obwenkanya.
Mungeri yeemu minisita webyokwerinda nensonga zomunda mu gwnaga Jeje Odongo alayidde nti okukwata abantu kwakugenda mu maaso, naddala singa wanaberawo ensonga eyetagisa okubakwasa.
Omubaka we Lwemiyaga Theodore Ssekikubo ne Betty Ochan akulira oludda oluvuganya gavumenti, basinzidde mu palamenti nebasaba nti ebikolwa ebyokukwata abantu bikome.
Wabula minisita yagambye nti ekyo tekijja kusoboka, bakugenda mu maaso okukwata abantu wekyetagisa.