Skip to content Skip to footer

Nanyini taxi eyasse omubaka akunyiziddwa

File Photo: Omugenzi Namaganda
File Photo: Omugenzi Namaganda

Nanyini taxi eyatomera  omubaka Susan Namaganda n’afa akunyiziddwa poliisi bw’abadde akola sitetimenti wali ku poliisi e Kibuli.

Passical Ssenyonga  awaddeyo ebikwata ku dereeva wa taxi eno eyavaako akabenje akatta omubaka.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Ssezibwa Philip Mukasa  agamba bakulondoola buli ekitereddwa mu sitetimenti eno wabula nga ssibakubyatula mu lujudde okusoboloa okunonyereza obulungi.

Mukasa agamba tebagenda kuwummula okutuusa nga eyali avuga taxi eno akwatiddwa era avunaanibwe.

Omugenzi  Namaganda  y’afa ku lunaku olwokutaano oluvanyuma lw’ebisago ebyamanyi byeyafuna mu kabenje kano ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala mu kibira kye Mpanga.

Leave a comment

0.0/5