Bya Caleb Opio,
Omukubiriza wólukiiko lweggwanga olukulu Rebecca Kadaga okubeera abóbuvunanyizibwa beekuume bulungi mu mwaka omuppya
Kadaga alabudde nti yadde mu mwaka omupya mubaamu essuubi empya, bannauganda tebasanye kwerabira kusomozebwa okuliwo okukuyigirako
Era asabye abantu okwenyigira mu nsonga zonna ezileeta obukulembeze obulungi nokukyusa embeera zaabwe
Kadaga yeyamye okuwagira gavt eze bitundu nga zifuna ensimbi ezimala zisobole okutuusa empereza ennungi eri bannauganda.