Bya Samuel Ssebuliba.
Ebibiina by’obwanakyeewa ebikola ku by’okulonda biraze esuubi mu bantu abalondeddwa okutuula ku kakiiko akagenda okukola enongosereza mu semateeka we gwanga aka constitutional review commission.
Kinajukirwa nti egulo minister akola ku bya semateeka we gwanga Gen Kahinda Otafire yafulumizza olukalala lw’abantu 14 abagenda okutuula ku kakiiko kano nga kuno kwekulira akulira ekakiiko akataba abavubuka Lilian Abel , eyaliko omubaka w’abavubuka Nusura Tiperu,eyaliko munamateeka wa government Kiddu Makubuya,eyaliko Sipiika wa palamenti Frank Butagira nabalala.
Twogedeko n’omukwanaganya wa Citizens’ Coalition for Electoral Democracy in Uganda Crispy Kaheru,naagamba nti akakiiko kano kaliko abavubuka , kko nabatuze mu myaka, kale nga bano bayinza okukola ssemateeka anaagase abantu bonna.