Skip to content Skip to footer

Akabenje katuzze mukaaga e mubende .

 

 

 

accident scene 2

Abantu 6 bafudde bafiiride mu kabenje akagudde ku luguudo oluvva e Mubende okuda e mityana.

Kano  akabenje kagudde ku kyaalo Nakasozi ,emotoka ekika kya Fuso number UAM 183Y bweremeredwa okuwalampa olusozi neda emabega neyeeyiringula emirundi egisobye mu kkumi .

Aduumira police ye biduka e Mubede Alex Muramuzi atubuulide nti emotoka eno ebadde yeetisse birime nga egenda Kibuli, kyoka nga wagulu kutudeko abantu 11.

Omukaaga abafudde kubadeko abakyala bataano   n’omusajja omu,wabula  nga webuwungeeredde nga abakamanyi amanya kuliko  Najuma Rabin ne Florence Nakijoba.

E no emotoka ebadde eva mu district ye fort portal okwolekera Kampala.

Leave a comment

0.0/5