Gavumenti etenderezza nyo ababaka b’ebyobulambuzi by’eggwanga 2 ne munnamawulire abafiiridde mu kabenje.
Norah Atim nga ye nalulungi w’ebyobulambuzi mu bukiika kkono bw’eggwanga, Barbara Nakiwolo omu ku besimbawo ku bwanalulungi bw’ebyobulambuzi ssaako ne munnamawulire wa NTV Resty Namawejje bebajukiddwa oluvanyuma lw’okufiira mu kabenje ku lunaku olwomukaaga ku nkomerero ya ssabbiiti ewedde.
Akabenje kano kaagudde wali e Nakirebe mu disitulikiti ye Mpigi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka nga era baabadde bagenda Mbarara ku mpaka za nalulungi w’ebyobulambuzi mu bitundu bye Ankole.
Nga ayogerako eri abakungubazi mu ekeleziya ya St Francis Chapele Makerere, minisita w’ebyobulambuzi Maria Mutagamba ategezezza nga omugenzi Atim bw’abadde omuntu alina obwongo obwogi nga ate muvumu mu kutumbula eby’obulambuzi mu ggwanga.
Mutagamba ategezezza nga ab’enyumba y’omugenzi n’eggwanga lyonna okutwaliza awamu bwebafiiriddwa omuntu owomugaso enyo.
Omugenzi Atim wakuziikibwa ku lunaku lwokusatu ku bijja byabajjabe mu disitulikiti ye Koboko.