Skip to content Skip to footer

Abasajja balabuddwa ku kokolo

Bya Shamim Nateebwa

Abakugu mu byobulamu ku ddwaliro lya kokolo erya Uganda cancer institute balaze okutya olwemiwendo gyabaami abeyongera okufuna kokolo wabasajja, oba prostate cancer nga kati ali ku 11.% buli mwaka.

Dr. Fred Okuku omusawo ku ddwaliro lino agambye nti kati kino kyekika kya kokolo mu basajja asinga mu Uganda, ngakitadde ku bulagajjavu ngabasinga 60% bagenda okuzuula nti balwadde nga kikerezi, kuba tebagala kwekebeza.

Dr. Fred Okuku era ategezeza nti bangi bafudde, kuba nekirwadde kiko kikula mpolampola, absinga nebatakimanya.

Kati abasajja abalyala ennyo enyama, okunywa omwenge, okufuweeta ssegereeti balabuddwa, nti bali mu kabi okukwatibwa ekirwadde.

Prostate cancer akwata abasajja abali waggulu wemyaka 46.

Leave a comment

0.0/5