Bya Damali Mukhaye.
Ministry ekola ku kikula ky’abantu erabudde nga ebula ly’emirimo mu bavubuka bwerinde okukendeera singa abavubuka banabangulwa mu by’emirimo gy’omumutwe, nebakyusa n’endowooza yaabwe eri okukola.
Okubala abantu okwaliwo mu 2014 kwalaga nga abantu abali mu Uganda ebitundu 58% bwebali wakati w’emyaka 14 – 64 , wabula nga kubano obukadde 10 tebakola.
Minister akola ku kikula ky’abantu Janet Mukwaya agamba nti kano kekadde abavubuka bakome okutunulira emirimo nga egirina okuba egya office gyokka, wabula beetabe n’emugino gyebenyinyala.